HOME PAGE
ABOUT THIS SITE
KNOWING GOD
OTHER LANGUAGES
MEDIA CENTER
STORE LINKS
FLL DEVOTIONALS
CHILDREN'S FLL
BBBBBBB
HOW TO GET INVOLVED...
SHARE FLL
TELL YOUR FLL STORY
NEWS UPDATES
RELATED LINKS:
LUGANDA HOME PAGE

Luganda Father's Love Letter


Ebbaluwa Ey'Okwagala Okuva Ewa Taata

Mwana wange,

Oyinza okuba nga tommanyi,
Naye nze Mmanyi buli kimu ekikukwatako.
Zab 139:1

Mmanyi bwotuula era bwo golokoka.
Zab 139:2

Mmanyi amagenda go gonna.
Zab 139:3

N'enviiri zo ezo kumutwe zonna zaabalibwa.
Mat 10:29-31

Wakolebwa mu kifaananyi kyange.
Lub 1:27

Era, Mu nze Obeera mulamu,
Otambula era Obeerawo.
Bik 17:28

Kubanga oli Zzadde lyange.
Bik 17:28

Nakumanya nga tonnabumbibwa.
Yer 1:4-5

Nakulonda nga nteekateeka okutonda.
Bef 1:11-12

Era toli nsobi nakatono
Zab 139:15-16

Ennaku zo zonna zawandiikibwa mu kitabo kyange.
Zab 139:15-16

Nnasalawo ebiro by'okuzaalibwa kwo,
ne wa gyolibeera.
Bik 17:26

Okukolebwaakwo kwa ntiisa era kwa kitalo.
Zab 139:14

Nnakubikkako mu lubuto lwa maama wo.
Zab 139:13

Era nenkujjamu kulunaku lwewazaalibwa.
Zab 71:6

Emirundi mingi, Nkiikiriddwa abantu abatammanyi.
Yok 8:41-44

Siri wala naawe, ate siri wabusungu,
naye nze kwagala okutuukiridde.
1 Yok 4:16

Era kwekwagala kwange okukulaga omukwano omungi.
1 Yok 3:1

Kubanga oli Mwaana wange, era nange ndi Kitaawo.
1 Yok 3:1

Nze Kitaawo owo muggulu, nkuwa nnyo ebirungi
okusinga Kitaawo owo ku Nsi ky'asobola.
Mat 7:11

Kubanga nze Kitaawo ndi mutuukirivu.
Mat 5:48

Buli kirabo ekirungi ky'ofuna, kiva mu mukono gwange.
Yak 1:17

Nze mugabirizi wo era mmanyi byewetaaga byonna.
Mat 6:31-33

Enteekateeka zange gyooli zijjudde essuubi bulijjo.
Yer 29:11

Kubanga Nkwagala n'okwagala okutaliggwaawo.
Yer 31:3

Ebirowoozo byange gyooli, bwemba mbibaze,
bisinga omusenyu omuwendo.
Zab 139:17-18

Era nkusanyukira nokuyimba.
Zef 3:17

Endagaano yange ey'okukukola obulungi teliggwawo.
Yer 32:40

Kubanga oli Kintu kyange ekiganzi.
Kuv 19:5

Weewaawo, sirirema kukusimba mu Nsi
n'omutima gwange gwonna, n'Emmeeme yange yonna.
Yer 32:41

Njagala nkwolese ebintu ebikulu n'ebizibu byotomanyi.
Yer 33:3

Bwona nnoonyanga n'omutima gwo gwonna ojjakunzuula.
Kyam 4:29

Sanyukiranga mu nze;
Nange naakuwanga okusaba kw'omutima gwo.
Zab 37:4

Kubanga nze nnakuwa okusaba okwo kwolina.
Baf 2:13

Era nsobola okukukolera okusinga
byonna by'osaba oba by'olowooza.
Bef 3:20

Nze nsinga okukuzaamu amaanyi.
2 Bas 2:16-17

Era Y'enze Taata wo,
akubudaabuda mu buli kubonaabona.
2 Bak 1:3-4

Bw'obeera n'omutima ogumenyese,
nange mbeera kumpi naawe.
Zab 34:18

Ng'Omusumba bwasitula omwana gw'endiga mu mukono gwe,
nange bwentyo nkusitulidde okumpi n'omutima gwange.
Yis 40:11

Luliba lumu ndisangula buli zziga mu maaso go.
Kub 21:3-4

Era nditwaala okulumwa ne nnaku byoyiseemu ku Nsi kuno.
Kubb 21:4

Nze Taata wo,
Era nkwagalira ddala nga bwenjagala omwana wange Yesu.
Yok 17:23

Kubanga mu Yesu, okwagala kwange gyooli kwabikkulwa.
Yok 17:26

Era nga Oyo, kye Kifaananyi kyange ddala.
Beb 1:3

Yajja, okulagira ddala nti ndikuludda lwo, so si mulabe wo.
Bar 8:31

Era no kukutegeeza nti, sikubalira byonoono byo.
2 Bak 5:18-19

Yesu yaffa, nze naawe tusobole okutabagana.
2 Bak 5:18-19

Okuffaakwe, kwalaga,
okwagala kwange gyooli okutuukiridde.
1 Yok 4:10

Nawaayo buli kyamuwendo,
nsobole okufuna okwagala kwo.
Bar 8:32

Bwokkiriza ekirabo eky'omwana wange
Yesu ob'okkirizza nze.
1 Yok 2:23

Era tewali Kintu kyonna,
kirikwawukanya na Kwagala kwange nate.
Bar 8:38-39

Komawo Eka,
nange naateekateeka embaga ennene muggulu.
Luk 15:7

Mbaddenga Taata,
era njakweeyongera okubeera Taata.
Bef 3:14-15

Ekibuuzo kyange kyeekino.
Onobeera omwana wange?
Yok 1:12-13

Nkulindiridde.
Luk 15:11-32

N'okwagala okungi, Nze Taata wo,
Katonda Ow'eggye


Permission To Copy:
Please feel free to copy this text and share it with your friends as long as you do so free of charge
and you include the following copyright information..."Father's Love Letter Used By Permission Father Heart Communications Copyright 2005-2008 Translated by Francis Mugwanya www.FathersLoveLetter.com"

Home / Contact Us / Terms Of Use / Partners / Links / Copyright Info
© Father Heart Communications